Omusilikale asibidwa lwakuta abantu babili.

Comments 1194 Views Kampala, Uganda
Waliwo omusilikale akwatidwa oluvanyuma lwokuba abantu babili amasasi olunaku lwe gulo mu disitulikiti ye Pader ela mwafilidemu omutanzania omu. Omutanzania eyafude ye Donald Musa nga abade akola ne ya Aqua-Tec drilling Kampuni mu disitulikiti ye Pader. Ate ye omulala eyakubidwa amasasi teyategelekese bimufako naye yaweledwa ekyitanda mu dwaliro lyaba missionary elye Kalongo. Omusilikale eyakwatidwa ye private Francis Magoma abade akolela mu kyitundu kye Agago mu Pader. Abade akolela mu brigade eya 509 ku dala elyokutano. Ye omwogezi wa magye ku dala elyokutano Lt. Deo Asiimwe Akiiki agambye nti omulambo gwomugenzi gwatwalidwa mu gwanika lya Lira disitulikiti. Omusilikale ono asubilwa okulabikako mu kooti ya magye okusinzila ku ofica omu naye okunonyeleza kukyagenda mumaso.

 

Tagged with: updf soldier

Comments